Amaanyi ga Katonda : The Power of God (Luganda Edition)
Kubanga nze kennyini nneerabiddeko ku ssanyu mu ddembe okuva lwennava mu myaka omusanvu gye nnamala nga ndi mukubonaabona n’endwadde, okusobola okubeera omuweereza ow’amaanyi afaanana Mukama, Nnaasiiba n’ensaba okumala ennaku n’emirundi mingi nga maze okuyitibwa okubeera omuweereza wa Mukama. Yesu atugamba mu Makko 9:23, “‘Oba ng’oyinza!’ byonna biyinzika eri akkiriza.” Era nnakiriza era n’ensaba kubanga nanywerera ku bisuubizo bya Yesu, “[Oyo yenna] akkiriza Nze emirimu gye nkola nze, naye aligikola: era alikola egisinga egyo obunene: kubanga nze ng’enda eri Kitange.” (Yokaana 14:12). Era ekyavaamu, okuyita mu nkung’ana ez’amalanga ssabbiiti bbiri buli mwaka ez’okuwonyezebwa, Katonda atulaze obubonero obwewuunyisa n’ebyamagero era n’atuwonya emirundi egitabalika n’okuddibwamu. Era, mu ssabbiiti ey’okubiri ey’olukung’ana lwa 2003 Olw’okuwonyezebwa, Katonda essira ly’okulaga amaanyi Ge yaliteeka ku abo abaali abazibe, abatasobola kutambula, kuwulira, n’okwogera.