Ku Biri Ng’ebyo Tewali Mateeka : Against Such Things There Is No Law (Luganda Edition)

By Jaerock Lee

Ku Biri Ng’ebyo Tewali Mateeka : Against Such Things There Is No Law (Luganda Edition)
Available for 4.99 USD

Omwoyo Omutukuvu bwajja mu mutima gwaffe, Atuyamba okutegeera ebintu bya Katonda eby’ebuziba n’okutambulira mu Kigambo kya Katonda. Eky’okulabirako, Bwe wabaawo omuntu gwe tutasobola kusonyiwa, Atujjukiza okusonyiwa n’okwagala kwa Mukama era n’atuyamba okusonyiwa omuntu oyo. Olwo nno, tusobola okweggyako amangu ddala obubi mu mutima gwaffe era ne tubusikiza obulungi n’okwagala. Mu ngeri eno, nga tubala ebibala eby’Omwoyo Omutukuvu okuyita mu kulung’amizibwa Omwoyo Omutukuvu, tetujja kweyagalira mu ddembe mu mazima kyokka, wabula n’okufuna okwagala okungi n’emikisa gya Katonda. 

Okuyita mu kibala eky’Omwoyo, tusobola okwekebera ku wa wetutuuse mu kutukuzibwa era tutuse wa mu kusemberera namulondo ya Katonda, n’awa wetutuuse mu kuteekateeka omutima gwa Mukama nga ye mugole omusajja. Gye tukoma okubala ekibala eky’Omwoyo Omutukuvu, gye tujja okukoma okufuna ekifo ky’okubeeramu mu ggulu ekisingako obulungi n’okumasamasa. Ffe okusobola okuyingira mu Yerusaalemu Empya mu ggulu, tulina okubala ebibala byonna bulungi era mu bujjuvu, so si kibala kimu kimu. 


Book Details

Buy Now (4.99 USD)