Ebintu ebyenjawulo abasomi bye basobola okuyiga okuva mu kitabo kino mwe muli:
1. Okutegeerera ddala obulungi mu ngeri ey’omwoyo, omwoyo, emmeeme, n’omubiri, nga bino bye bikola omuntu, era abasomi basobola okwetunulamu ne bategeera obulamu kye ki mu ngeri ey’enjawulo era ey’ebuziba.
2. Basobola okutuuka ku ddala ery’okwetegerera ddala nga bamanya kye nnyini kye balina okuba na kiki kye beefudde. Ekitabo kino kiraga ekkubo eri abasomi ery’okwetegeera nga omutume Paulo bwe yagamba mu 1 Abakkolinso 15:31, “Nfa bulijjo” ne basobola okutuukiriza obutuukirivu era ne bafuuka abantu ab’omwoyo abo Katonda bayagala.
3. Tusobola okwewala okutegebwa omulabe setaani, era ne tufuna amaanyi ag’okuwangula ekizikiza kasita tuba nga twetegedde. Nga Yesu bwe yagamba, “oba nga yabayita abo bakatonda abajjirwa ekigambo kya Katonda,(so n’ebyawandiikibwa tebiyinza kudiba)” (Yokaana 10:35), ekitabo kino kiraga ekkubo eryangu eri abasomi eribasobozesa okwenyigira mu buzaaliranwa bwa Katonda era ne bafuna emikisa gyonna egyo egyabasuubizibwa Katonda.